Share

Weegendereze Ng’olaba Croatia ne Bufalansa

Nga esigadde ennaku mbale okutuuka ku mupiira ogugenda okufundiikira empaka z’ekikopo ky’ensi yonna mu Russia ebifo ebisanyukirwamu ebigenda okulaga omupiira guno binywezeezza ebyokwerinda byabyo nga bijjukira bulungi ebyaliwo nga 11 omwezi ogw’okusanvu mu mwaka 2010.

Wadde obukuumi bwa maanyi abaagazi b’omupiira bagamba nti ssibeetegefu kusubwa mpaka za kamalirizo. Omusasi waffe yabaddeko mu bifo ebimu olunaku lw’eggulo okulaba enneeyisa ya Bannayuganda mu mpaka ezaaddiridde ez’akamalirizo.

Leave a Comment