Share

Ttiyaggaasi anyoose mu kibuga, Aba ‘People Power’ poliisi b’efuumudde

#NBSUpdates #NBSAmasengejje
Wabaddewo akasattiro ku luguudo oludda e Bombo mu Kampala poliisi bwekubye omukka ogubalagala okugumbulula Bannakisinde kya people power ababadde mu kujaganya olw’omubaka Robert Kyagulanyi okuwandiikira akakiiko k’ebyokulonda ng’akakasa nti entebe y’omukulu agyetaaga.
Okujaganya bakutandise bava mu kooti okuwulira omusango oguvunanyibwa omukulembeze w’ekisinde kyabwe nemune Edward ssebuufu A.K.A Eddie Mutwe ne David Lule abalangwa okwekalakasa mu ngeri emenya amateeka nga bawakanya omusolo gwa OTT.

Leave a Comment