Share

Muhangi eyali ow’amanyi avudde mu kkomera

Abakungu ba police 4 ababadde bavunaanibwa mu kooti y’amagye kyadaki bateereddwa ku kakalu ka kkooti oluvanyuma lw’okumala emyaka ebiri nga bawerenemba n’emisango. Ku bano kuliko Joel Agume, Herbert Muhangi, eyali akulira ekitongole kya Poliisi ekikesi ki Flying squard, Detective ASP James Magada ne Detective Coporal Amon Kwarisima. Mu ngeri y’emu Kooti enkulu ewulide omujulizi asembyeyo mu musango oguvunaanwa Paul Bagyenda, akakasiza nti ddala Bagyenda yakkiriza okutta eyali muganzi we.

Leave a Comment