Share

Mbu Bujingo ye Kibwetere w’ennaku zino, Ssebo oba tomanyi lwaki tosirikako?

Rev. Canon Aaron Mwesigye akulira ekitongole ekikwasisa empisa, obuntu bulamu n’ediini mu ggwanga ekimanyiddwa nga Directorate for Ethics, Integrity and Religion, akubye ebituli mu bigambo by’Omusumba Aloysius Bujingo byeyakayogera wano jjuuzi. Bujingo bweyabadde abuulira abagoberezibe mu kkanisaye wali e Makerere, yagambye nti ebirayiro ebikubibwa abaagalana bwebaba bagattibwa mu kkanisa omuli eky’okutuusa okufa lwekulibaawukanya bya sitaani yeeyabiteekawo.

Leave a Comment