Share

Lwaki Baminisita Beebulankanya Mu Ntuula?

#NBSUpdates #NBSAmasengejje
Sipiika wa paalamenti Rebecca Alitwala Kadaga okuggala paalamenti olwa baminisita obutalabikako kuddamu bibuuzo kyalese bangi nga balimu akakunkuna.
Nampala wa gavumenti Ssemujju Nganda agamba nti paalamenti yeyereetera ejoogo n’okuyisibwamu olugaayu kyokka amyuka nampala wa Gavt, Solomon Silwanyi agamba nti olumu enteekateeka za palamenti baminisita zibasanga bakwataganye n’emirimu emitongole gye baba batasobola kulekawo.

Leave a Comment