Share

Lwaki ‘Abasomesa Babba Ebibuuzo?’

Oluvannyuma lw’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga okufulumya ebyava mu bibuuzo by’ekibiina ekyomusanvu byebaatuula mu 2017 nekizuuka nti abayizi abasoba mu 2000 ebyabwe tebyakomyewo nga kiteeberezebwa nti beenyigira mu kubibba, olwaleero abazadde b’abaana ku ssomero lya Seeta Parents erimu kwago agaawambiddwako ebigezo by’abayizi 194 babukeerezza nkokola okugenda ku ssomero okulaba ogubadde. Naye olowoooza babaganyiza yadde n’okuyingira munda?
Bano tubasanze bakonkomalidde ku wankaaki w’essomero ng’abasirikale babagoba badde ewaabwe balinde ebinadirira.

Leave a Comment