Share

Eyeeyita ‘Ful Figure’ alidde mu ttama, Nakanguubi akayuukidde Nakyobe

Omu ku bakunzi ba NRM omuggya Jeniffer Nakanguubi amanyiddwa nga Full Figure asekeredde abamwogerera nti tafuna musaala. Ono abasabye bafe ku midaala gyabwe, nti kubanga ye y’amanyi engeri gy’afunamu ssente ze. Bino webiggyidde ng’akulira entambuza y’emirimu mu maka g’omukulembeze w’eggwana Lucy Nakyobe, y’akamala okutegeeza nga full figure, Kusasira ne Buchaman bwebatali ku lukalala lw’abakozi b’omu State House, nti kubanga abasatu abo tebafunanga bbaluwa zibakakasa ku mirimu

Leave a Comment