Share

Ettaka kata limusse, Omusajja bamutemye ebiso ku mutwe

Omubaka wa pulezidenti e Ntebe, Haji Njuki Mbabaali alagidde polisi ye Ntebe okwata munnamagye Capttain Abel Wasswa eyatwalidde amateeka mu ngalo natemateema  omuntu okujula okumutta.

Captain Wasswa ne mukyalawe, Margaret Nalwoga bagambibwa okuba nga bakakkanye ku mutuuze munnaabwe  Edward Jemba ku kyalo Bufulu Nkumba e Katabi ne bamuteemateema omutwe nga baulanga kusaalimbira ku ttaka lya kitaawe wa Nalwoga.

Leave a Comment