Share

Ekkanisa Bagikwasizza Ekizimbe Kyayo

Kampuni ebadde ezimba ekizimbe ky’ekkanisa ya Uganda eky’ebyebusuubuzi ki Church House, leero lw’ekiwaddeyo mu butongole eri abakulembera ekkanisa ya Uganda.
Ebisumuluzo by’ekizimbe bikwasiddwa ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Stanley Ntagali, ategeezezza nti ekkanisa esuubira okuyingiza akakadde ka doola nga kamu n’ekitundu n’okusukkamu buli mwaka ng’eza kuno z’e ssiringi ng’obuwumbi mukaaga.

Leave a Comment