Share

Ekibululu mu ddwaliro ly’e Masese, Bano tebalinze kuwanjagira gavumenti ebayambe

Bannakibuga Jinja nga bakulembeddwamu omubaka wa Jinja East mu paalamenti Paul Mwiru, enkya ya leero bakedde mu misinde okwetoloola ekibuga ekyo Jinja. Emisinde gino gibadde gya kusonda nsimbi ez’okugulira eddwaliro ly’e Walukuba embaati z’amasannyalaze g’enjuba. Eddwaliro eryo elya Walukuba Health Center IV, limaze ebbanga nga liri mu kibululu oluvannyuma lw’ekitogole ky’amasannyalaze ki UMEME okugasalako.

Leave a Comment