Share

E Jinja Okulonda Kwakuddibwamu

Kkooti ejulirwamu egobye omubaka wa Jinja East Nathan Igeme Nabeta mu parliament, n’eragira okulonda kuddibwemu.
Omubaka ono yennyini Nabeeta yeeyaddukira mu kkooti eno ng’ayagala ejungulule ensala ya kkooti enkulu e Jinja eyali yasooka okumugoba mu paalamenti n’erangirira Paul Mwiru eyamuwawaabira olwemuvuyo egyali mu kulonda kwa 2016.

Leave a Comment