Share

Bobi Akoze Akakodyo ka Besigye

Police esiibye ezinzeeko buli kifo kyesuubira okubeeramu omubaka wa Kyadondo East Mu Paalamenti Robert Kyagulanyi. Kinajjukirwa nti wabaddewo enkalu ku kivvulu ky’omubaka ono era omuyimbi Bobi Wine, kyeyabadde ategese okuba e Busaabala, nga Poliisi egamba nti talina lukusa kukitegekayo. Wabula ng’ekyagubye mu makaage e Magere, mu ghetto z’E kamwokya n’e Busaabala ku one love Beach, Bobi Wine ate abbulukukidde mu kibuga wakati ng’ali ku Boda Boda era buli wonna w’ayise alese emirimu gisanyaladde.

Leave a Comment