Share

Ab’e Nakuwadde mu Wakiso Beekalakaasizza

Poliisi y’e Bulenga ekedde kwezooba na batuuze b’e Naakuwadde Bulenga ababadde bazibye amakubo nga beekalakaasa olw’okubeera mu nzikiza oluvannyuma lwa transformer yaabwe okumala ennaku ng’afudde.

Abatuuze bano batuuse n’okuyimiriza boodabooda ebadde etwala omufu ne bamuggyako ne batandika okukooloobya ennyimba z’okuziika wadde nga babadde tebamanyi mufu gyabadde atwalibwa.

Leave a Comment