Share

Abato be Masaka balamaze Kitovu

Olwaleero lwe lubadde olunaku lw’abaana okulamaga e Namugongo okusinziira ku nteekateeka y’essaza ly’e Masaka eribadde lirina okukulemberamu ebikujjuko by’omwaka guno.
Wadde tebasobadde kugenda Namugongo, abato ab’olubatu beetabye mu mmisa ekulembeddwamu omusumba w’essaza ly’e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa.

Leave a Comment